Tuesday , April 23 2024
Home / NEWS / Kabaka urges Buganda clan elders to have registers

Kabaka urges Buganda clan elders to have registers

A clan elder gets the ear of the Kabaka of Buganda. PHOTO BUGANDA KINGDOM MEDIA

Kampala, Uganda | THE INDEPENDENT | The Kabaka of Buganda Ronald Muwenda Mutebi has urged clan elders to revive a tradition of registering members of their clans.

He said registration was among many responsibilities they had in their efforts to revive Buganda culture and traditions. The Kabaka thanked the clan elders for the work they are doing and stressed the importance of registering clan members.

Kabaka Mutebi made the remarks at an end-of-year party for clan elders at the palace in Mengo on Tuesday. There are 54 clans in Buganda.

He also highlighted six issues that should concern the Buganda elders. That is, floods across the country,  HIV, rampant murders, abuse of human rights, land disputes and tours of clan headquarters

FULL SPEECH (in Luganda text and audio)

Nsanyuse nnyo okuba nammwe wano leero mu Lubiri.

Njagala okusaasira abataka abatali naffe olwa leero olw’obukosefu, naabo abalina ebizibu eby’enjawulo, tusaasira n’ebika ebirina abataka abawummula, Katonda abawummuze.

Tuwulirizza alipoota esomeddwa omukubiriza w’olukiiko lw’abataka, enteekateeka zammwe nnungi era tujja kuziwagira, era nga abataka bwebasabye, tujja kufunayo ekiseera mangu ddala okusisinkana abataka bonna okwongera okubaganya ebirowoozo ku nsonga enkulu mu ggwanga.

Tusiima nnyo emirimu emirungi egikolebwa abataka abakulu ab’obusolya okukuuma ennono n’ebyobuwangwa bwaffe. “Abataka muli mpagi yamaanyi nnyo mu nsonga eno era tubasiimira ddala”, tusiima ne bazzukulu bammwe naddala abo abeewayo okuyamba ebika byabwe mu ngeri ez’enjawulo.

Twebaza nnyo omulimu ogugenda mu maaso mu kiseeraa kino mu Bika ogw’okuzza obuggya obutaka n’okunyweza endabirira yebyobugagga mu nsonga z’ebika.

Mu kika ekirangira, twebaza Nnaalinnya Nsangi akulembeddemu omulimu ogw’okuzzaawo amasiro ga Ssekabaka Kiyimba e Ssentema, akulike akulikire ddala.

Mwenna mukimanyi bulungi nti Obuganda bwazimbibwa era nga bujja kugenda mu maaso nga bwesigamye ku bumu, Obumu bwetwagala, Abataka tubasaba munyweze obumu obwo mu bazzukulu bammwe.

Tujjukiza Abataka omulimu omukulu gwemulina okukunga bazzukulu bammwe obuteerabira ennono ate n’okujisomesa abaana. Bazzukulu bammwe naddala abavubuka bebalina okukwata omumuli gw’ebika n’okugwagazisa abalala. Buli Kika kirina abantu bakyo abatutumufu ku bintu eby’enjawulo katugambe nga; mu by’obusuubuzi, mu buyivu, ne mu bintu eby’enjawulo, tubasaba nti mukunge abazzukulu bammwe ng’abo okwenyigira mu mirimu gy’ekika ne mu Buganda okutwalira awamu, n’abazzukulu nabo tubakowoola okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe n’okubutuukiriza, era tubasaba ensonga eno mugitwale nga nkulu nnyo.

Mu manyi bulungi nti okuva edda nedda buli Kika kyawandiisanga abazzukulu bakyo okuviira ddala ku mpya okutuuka ku kasolya. Ensonga eno nkulu nnyo, Ebika ebigoberera enkola eno tubisiima nnyo era bwewabaawo Ebika ebigayaddemu tubisaaba ensonga eno batandike okugikolako. Newankubadde nga kijja kuba kizibu naye waabeewo entandikwa. Wabula kisaana okukolebwa n’obwegendereza nga mugoberera ennono nga bwezirambikiddwa ku nsonga eno.

Nga maliriza sirema kukoona ku nsonga zino enkulu ennyo zetusuubira nti ffenna zitukwatako.

1. Njagala okusaasira bannfe abakoseddwa ennyo amataba agavudde mu nkuba etonnye naddala mu bitundu bye Kasese, Sironko, Bududa n’awalala. Njagala okwebaza abo bonna abenyigidde mu kuyamba abantu abali mu bitundu ebyo, ebitongole by’obwannakyewa n’ebitongole ebimu ebya gavumenti, tusuubira nti embeera zaabwe zinaaterera mangu ddala.

Group photo of clan elders with Kabaka Mutebi

2. Mbajjukiza ku nsonga y’obulwadde bwa siriimu, tuleme kukoowa n’okumanyisa abantu baffe omutawaana oguli mu kirwadde kino. Siriimu taggwangawo era tunakuwala nnyo okuwulira nga akyatabaala mu baana abato, abavubuka n’abantu abalala, nze kulwange sijja kukoowa okumanyisa abantu baffe omutawaana oguli mu kirwadde kino.

3. Obutemu n’okuzibwawo kw’abantu baffe mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu. Ebikolwa bino bitunakuwaza nnyo, tunyolwa nnyo naabo abayita mu mbeera eno era tubasaasira. Tusaba ab’obuyinza omuli ne palamenti yaffe okukomyawo essuubi lyaffe nga balondoola abenyigidde mu bikolwa bino n’okutema empenda ezibimalawo.

4. Okulinnyirira eddembe ly’obuntu okweyongedde ennyo mu ggwanga lyaffe: Tulabe engeri bannamawulire awamu n’abakulembeze abenjawulo n’abaana abagezaako okutambuza emisomo gyabwe gyebayisibwamu ku nsonga ez’enjawulo netwennyamira nnyo. Twogedde nnyo ku nsonga eno enkulu mu kutebenkeza eggwanga lyaffe, tumanyi nti eddoboozi ly’omuntu wa bulijjo lyeriyamba abakulembeze okutereeza empeereza mu ggwanga. Okunyigiriza abantu ssi kirungi era kikonzibya enkulaakulana ffenna tusaana tukwatire wamu ku nsonga eno.

5. Ensonga y’ettaka: Wano mu Buganda enkolagana yab’ebibanja nebannayini ttaka teriiko buzibu, naye ebigenda mu maaso ennaku zino bituleetera okunakuwala. Tetwagala ba bibanja kunyigiriza nannyini ttaka wadde ttaka okunyigiriza ab’ebibanja naye okubeerawo n’enkolagana ennungamu nga bwekyabeeranga edda. Abataputa obulala n’okuvumirira enteekateeka eno, tebaagaliza Buganda birungi n’enkulaakulana y’eggwanga.

6. Ntegeeza Abataka nti njakugenda mu maaso nga nnambula obutaka kubanga kikulu nnyo tulabe engeri gyetusobola okubanga tuddaabiriza obutaka bwonna era bwekiba nga kisoboka n’abantu babe nga basobola okugenda okulambula naddala abantu baffe, naye tutandike omulimu okulaba nti tuddaabiriza obutaka bw’ebika.

Mbaagaliza ennaku enkulu ez’eddembe n’essanyu, neebaza omutaka Kayiira olw’ebigambo byayogedde wano n’ebirowoozo byaleese bibadde birungi ddala. Katonda abakuume.

2 comments

  1. It’s good that His Highness the kabaka has remembered the lost Buganda Clans

  2. At last His Highness the Kabaka of Buganda has ordered the registration of Buganda Clans and Sub-Clans, which has given hope to Leopard Clan members in different locations of Uganda and other African Countries.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *